Psalms 68

Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba lwa Dawudi.

1 aKatonda agolokoke, abalabe be basaasaane,
n’abo abamukyawa bamudduke.
2 bNg’empewo bw’efuumuula omukka,
naawe bafuumuule bw’otyo;
envumbo nga bw’esaanuuka mu muliro,
n’abakola ebibi bazikirire bwe batyo mu maaso ga Katonda!
3 cNaye abatuukirivu basanyuke
bajagulize mu maaso ga Katonda,
nga bajjudde essanyu.

4 dMuyimbire Katonda,
muyimbe nga mutendereza erinnya lye;
mumuyimusize amaloboozi gammwe oyo atambulira mu bire.
Erinnya lye ye Mukama, mujagulize mu maaso ge.
5 eYe Kitaawe w’abataliiko bakitaabwe, ye mukuumi wa bannamwandu;
ye Katonda abeera mu kifo kye ekitukuvu.
6 fKatonda afunira abatalina we babeera ekifo eky’okubeeramu,
aggya abasibe mu kkomera n’abagaggawaza;
naye abajeemu babeera mu bifo bikalu ddala.

7 gAyi Katonda, bwe wakulembera abantu bo,
n’obayisa mu ddungu,
8 hensi yakankana,
eggulu ne lifukumula enkuba mu maaso ga Katonda;
n’olusozi Sinaayi ne lukankana
awali Katonda, Katonda wa Isirayiri!
9 iWatonnyesa enkuba nnyingi ku nsi, Ayi Katonda;
ensi y’obusika bwo n’ogizzaamu obugimu bwe bwali nga buggweerera;
10 jabantu bo ne babeera omwo; era olw’ekisa kyo ekingi, Ayi Katonda,
abaavu ne bafuna bye beetaaga okuva ku bugagga bwo.
11Mukama yalangirira;
ne babunyisa ekigambo kye; baali bangi ne boogera nti:
12 k“Bakabaka badduse n’amaggye gaabwe;
abantu ne bagabana omunyago.
13 lBalabe bwe banyirira n’obugagga bwa ffeeza ne zaabu!
Babikkiddwa ng’ejjuba bwe libikkibwa
ebiwaawaatiro byalyo.”
14 mAyinzabyonna yasaasaanya bakabaka,
ne baba ng’omuzira bwe gugwa ku Zalumoni.
15Ggwe olusozi olw’ekitiibwa, olusozi lwa Basani;
ggwe olusozi olw’emitwe emingi, olusozi lwa Basani!
16 nLwaki otunuza obuggya ggwe olusozi olw’emitwe emingi?
Lwaki okwatirwa obuggya olusozi Katonda lwe yalonda okufugirako?
Ddala okwo Mukama kw’anaabeeranga ennaku zonna.
17 oMukama ava ku lusozi Sinaayi
nga yeetooloddwa amagaali enkumi n’enkumi
n’ajja mu kifo kye ekitukuvu.
18 pBwe walinnyalinnya olusozi,
ng’abanyage bakugoberera;
abantu ne bakuwa ebirabo
nga ne bakyewaggula mwebali;
bw’atyo Mukama Katonda n’abeeranga wamu nabo.
19 qAtenderezebwe Mukama, Katonda omulokozi waffe,
eyeetikka emigugu gyaffe egya buli lunaku.
20 rKatonda waffe ye Katonda alokola;
era tuddukira eri Mukama Katonda okuwona okufa.
21 sDdala, Katonda alibetenta emitwe gy’abalabe be,
kubanga ne mu bukadde bwabwe balemera mu bibi byabwe.
22 tMukama agamba nti, “Ndibakomyawo nga mbaggya mu Basani,
ndibazza nga mbaggya mu buziba bw’ennyanja,
23 umulyoke munaabe ebigere byammwe mu musaayi gw’abalabe bammwe,
n’embwa zammwe zeefunire ebyokulya.”

24 vEkibiina kyo ky’okulembedde bakirabye, Ayi Katonda,
balabye abali ne Katonda wange, era Kabaka wange, ng’otambula okugenda mu watukuvu;
25 wabayimbi nga bakulembedde, ab’ebivuga nga bavaako emabega
ne wakati waabwe nga waliwo abawala abakuba ebitaasa.
26 xMutendereze Katonda mu kibiina ekinene;
mumutendereze Mukama, mmwe abakuŋŋaanye abangi Abayisirayiri.
27 yWaliwo ekika kya Benyamini asinga obuto kye kikulembedde,
ne kuddako ekibinja ekinene eky’abalangira ba Yuda,
n’abalangira ba Zebbulooni n’abalangira ba Nafutaali.

28Laga obuyinza bwo, Ayi Katonda,
otulage amaanyi go, Ayi Katonda onyweze ebyo by’otukoledde.
29 zBakabaka balikuleetera ebirabo
olwa Yeekaalu yo eri mu Yerusaalemi.
30 aaNenya ensolo enkambwe ey’omu bisaalu,
eggana lya ziseddume eriri mu nnyana z’amawanga.
Gikkakkanye ereete omusolo ogwa ffeeza.
Osaasaanye amawanga agasanyukira entalo.
31 abAbabaka baliva e Misiri,
ne Kuusi aligondera Katonda.

32Muyimbire Katonda mmwe obwakabaka obw’ensi zonna.
Mutendereze Mukama.
33 acOyo eyeebagala eggulu erya waggulu ery’edda,
eddoboozi lye ery’amaanyi liwuluguma okuva mu ggulu.
34 adMulangirire obuyinza bwa Katonda,
ekitiibwa kye kibuutikidde Isirayiri;
obuyinza bwe buli mu bire.
35 aeOli wa ntiisa, Ayi Katonda, mu kifo kyo ekitukuvu.
Katonda wa Isirayiri, yawa abantu obuyinza n’amaanyi.

Katonda atenderezebwe.
Copyright information for LugEEEE